Charles Peter Mayiga (@cpmayiga) header
Charles Peter Mayiga (@cpmayiga) profile picture

Katikkiro (Prime Minister) of the Kingdom of Buganda (@BugandaKingdom_). Personal posts end with CPM.

Kampala
Joined June 2013
Nga nzija wano, Ssaabasajja Kabaka angambye nti musanyufu nnyo olwa Kaweefube w'okutaasa obulamu, CBS gw'ewomyemu omutwe ng'eyita mu Kijjulo kya Kaliisoliiso. Obwakabaka bwenyigidde mu bintu bingi. Mu 2017, obwanga twabwolekeza okutaasa abagwa ku bubenje ku luguudo lw'e Masaka. Twakawaayo ensimbi ezisoba mu kawumbi kalamba n'obukadde 600. Mu Uganda tulina ekizibu. Twagala nnyo okuwaayo ssente z'embaga ne ssente z'amabugo. Muba ne bannammwe nga balwadde, teri muntu asonda ssente, bwe mufiirwa amabugo ne gajja. Naye njagala tukyuse endaba y'ebintu. Twemanyiize okwenyigira mu nteekateeka ezitaasa obulamu, ezireeta enkulaakulana.
6
13
92
3,299
Ntuuse ku ddwaliro ly’E Nkozi okukwasa abaliddukanya ensimbi ezaava mu Kaliisoliiso dinner. Ensimbi zino zeziyambako okuzimba ekifo ewatuukira abayi n’abagudde ku bubenje.
6
20
251
5,560
Abazadde, temulekera basomesa baana.
15
65
3
419
10,325
Olwaleero Nsisinkanye abantu ba Buganda abavudde mu masaza ag’enjawulo abaleese Oluwalo. Nneebaza abantu ba Buganda abaleese oluwalo. Mwana mugimu ava ku ngozi. Abazadde abaana bawummudde, mubayigirize emirimu. Omuganda agamba nti omwana bwotamukaabya mu buto, akukaabya mu bukadde. Okukaabya omwana mu buto, kwe kumutuma kyatayagala kukola naye nga kimugasa. Nkubiriza abazadde obutakola baana kyejo mu luwummula.
4
12
126
3,598
Nsanyuse nnyo okulaba abaana bamasomero nga bazze. Omuganda agamba nti mwana mugimu ava Ku ngozi. Abaana tubalage ffe byetulaba, tubaagaze ffe byetwagala, tubayigirize ffe byetumanyi.
30
80
7
926
20,962
A quote to Employers & Managers! “Employees should not have to work under constant supervision. Trust them with responsibility, give them room to deliver, and allow them to earn that trust. When an employer first demonstrates trust, employees develop a sense of ownership and accountability. They should feel that failing is not just disappointing their employer, but betraying the confidence placed in them.” Trust builds ownership; ownership inspires accountability. #CPMQuotes – at Kampala, Uganda
20
98
3
426
17,122
13 years of dedication, sacrifice and proudly wearing the Uganda Cranes jersey. 🇺🇬⚽ Thank you, Khalid Aucho, for the commitment, passion and service you have given to our national team. Your contribution to Ugandan football will always be appreciated. Once a Crane, always a Crane. 🏆🇺🇬 CPM – at Kampala, Uganda
24
161
3
1,924
20,191
Nakedde Mutundwe, gye tuzimba ekitebe ky'Ekika kyaffe eky'Omutima. Neebaza abasonze ensimbi, n'omuwanika atuwadde alipoota ku kuzimba nga bwe kuyimiridde. Nsanyuse nnyo okulaba ng'Ebika mu Buganda bisituse okuzimba ebitebe byabyo. Mu mulembe guno Omutebi, tetukyusa bya buwangwa, naye tulina okubitambuliza ku mulembe oguliwo, buli kika kisitule ekitiibwa kyakyo.
1
9
1
105
4,587
Tutuuse ku Kingdom Kampala mu kivvulu ky’omuyimbi Mesearch Ssemakula. Ssemakula ajaguza emyaka 50.
8
35
976
26,860
Enkya, Lwamukaaga, 14 November, ku ssaawa 4 ez'enkya, Aboomutima, Abako, n'abemikwano tugenda kusisinkana e Mutundwe, wetuzimba woofiisi/ ekitebe ky'Ekika kyaffe. Mwenna mukowoolwa musobole okulaba omulimu we gutuuse. Abaatusuubiza, n'abatwongera tunaabasanyukira. Ndi n'Omuwandiisi w’Olukiiko Oluzimbi, Josephine Nakakeeto Masagazi nga tuteekateeka olw'enkya. – at Kampala, Uganda
4
18
221
6,996
Mu nsisinkano yaffe n’abayizi be Makerere, mbajjukiza nti okubeera omusiraamu tekikuggya ku buwangwa bwo, kubanga Ekika kyo tosobola kukikyusa. Ffenna tussengamu ekitiibwa eddiini n'obuwangwa by'abalala tusobole okutambulira awamu.
1
6
113
3,795
Abayizi ba Makerere University Muslim Students Association, batukyaliddeko okumanya ensonga n’okubaako byebaloopa embuga. Bakulembeddwa Ssentebe wabwe Bwanika Sadat.
4
9
154
5,937
Ntongozza enteekateeka y'obwakabaka okusitula omutindo gw'ebyobulamu nga tuyita mu Weerinde insurance Brokerage Services, Eddwaliro ly'e Nsambya, Kabaka Foundation, ne Jubilee Insurance Services Ltd. Mu nteekateeka eno abantu ba Kabaka baakufuna obujjanjjabi obwa nnamaddala nga bakozesa Tubeere Balamu Yinsuwa ku bbeeyi ensaamusaamu.
4
17
1
124
5,891
Ensimbi z’Obujjanjabi zitabudde nnyo ab'Enganda, ab'emikwano, n'abantu abatwetoolodde, era kittattanye enkolagana mu bantu bangi olw’okulowooza nti abalala balina ensimbi okuwa abalala bejjanjabise. Abantu beemanyize okugula Yinsuwa y'ebyobulamu eya Tubeere Balamu Yinsuwa kibayambe okufuna ku buweerero kubanga Yinsuwa ewewulako ku mugugu gw'ensimbi z’obujjanjjabi.
11
54
2,394
Nsisinkanye Omubaka akiikirira abantu b’e Lubaga mu Paalamenti, Hon. Nassolo Eugenia. Azze n’ab’omu maka ge okuntegeeza olutabaalo lw’akalulu akaamutuusa mu Paalamenti. Musabye asigale nga aweereza Kabaka n’obwesigwa, anywerere ku nsonga za Buganda, omuli omugabo gwa Buganda, Federo n’enkulaakulana y’abantu baayo wamu n’okutuusa eddoboozi ly’abantu b’akiikirira mu Paalamenti awatali kusosola.
7
13
2
291
17,839
Leero tweggasse ku Jjajjaffe Omukulu w'Ekika ky'Omutima, Omutaka Namugera Kakeeto okulambula omulimu gw'okuzimba ekitebe ky'Ekika kyaffe. Twagala omulimu guno guggwe mu bbanga eritasukka mwaka. Nneebaza bonna abatuwadde ssente okukola omulimu guno, omuli n'abatali ba Kika kyaffe, mutukoze obulungi obutagambika. Nkoowoola bonna abaasuubiza okuwaayo ensimbi okwongera okuleeta nga muyita ku akawunta - 9030028864948 mu Stanbic Bank mu linnya lya 'Bayanja Development Association' Nyongera n'okukunga Aboomutima obutabulawo ku Lwomukaaga luno nga 14, okulaba ssente ze muwaayo weziraga n'okwongera okutambulira awamu n'Ekika.
3
7
115
4,172
– at Kampala, Uganda
1
7
552