Ministry of Local Government_Buganda (@LocalGovt_Bug) header
Ministry of Local Government_Buganda (@LocalGovt_Bug) profile picture

Official page for the Ministry of Local Government @BugandaOfficial

Bulange, Mmengo
Joined April 2023
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Abaami b'eggombolola baluŋŋamizidwa ku nkola y'emirimu Minisita wa Gavumenti ez'Ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki asisinkanye abaami ba Kabaka mu masaza; Gomba, Busujju, Mawokota ne Butambala mu kwongera okubalambika ku nkola y'emirimu, enteekateeka eno ebadde ku mbuga y'Essaza Gomba. Minisita Kawuki alaze nti mu nteekateeka ya gavumenti ez'ebitundu waliwo ekiruubirirwa ky'okwongera okukuza n'okunyweza obukulembeze okusobola okunnyikiza enkola y'emirimu wamu n'empeereza esinga naddala mu ggombolola ng'akikaatiriza nti abaami ab'eggombolola be basinga okutuuka obuteerevu ku bantu ba Kabaka kale nga okunyweza enkola ezo zonna kyetaagisa okuzukusa abaami abo. Ebisingawo 👇 gambuuze.ug/abeggombolola-mu…
4
47
1,570
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Leero nkedde ku ssomero, Kids and Love Daycare and Kindergarten - Bwebajja, okwetaba ku mukolo abaana nga boolesa ebitone byabwe eby'enjawulo ng'essomero likomekkereza olusoma lw'omwaka guno.
2
11
940
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
#LuwaloLwaffe2025: Abantu ba Kabaka okuva mu masaza; Busujju, Kyaggwe, Bugerere ne Kyaddondo- eggombolola Mumyuka Kamengo, Mut. VII Kawolo, Mumyuka Maanyi, Ssaabaddu Malangala, Ssaabawaali Butayunja, Ssaabagabo Kakindu ne Ssaabagabo Lufuka bakiise embuga. Minisita @KazibweIsrael y'aliwo ku lwa Katikkiro okutikkula oluwalo ate Minisita Choltilda Nakate Kikomeko akiikiridde Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda Owek. @JosephKawuki_. #BugandaKuNtikko
1
7
53
1,729
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Nga 8/10/1962, Omulangira wa Bungereza Edward (Duke of Kent), yajja mu Bulange n'asisinkana Ssekabaka Muteesa II okuddiza Buganda obwetwaze bwayo olwo ne Uganda eyawamu n'eweebwa obwetwaze enkeera nga 9. Leero mu kujjukira emyaka 63, tukuzizza olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez'Ebitundu mu Buganda ku Mbuga y'Eggombolola Musaale Busukuma. Abazungu okujja kuno baasanga Buganda erina obukulembeze obulambukufu nga enkola ng'eno eya Bulungibwansi zituukuumira wamu era nga twekulaakulanya. Okwolesebwa kwaffe okw'okuzza Buganda ku ntikko kwe kuzza ekitiibwa kya Buganda mwe yalabirwanga era Federo tukyagala na kati.
5
27
164
4,784
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Mwebale nnyo Bannabusujju okujjumbira #EmmwanyiTerimba Okugoba obwavu, buli muntu ateekwa okumanya wakwata; obulimi, obulunzi, obweggassi, obusuubuzi, obusomesa, amakolero n'emirimu emirala. Kyokka mu byonna bye tukola, tukulembeze obuyiiya, obwerufu, okukola n'okwagala, obumalirivu olwo tufulumye eby'omutindo!
1
16
1
164
6,271
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Tutuuse mirembe okuva e Dubai mu UAE gye tubadde ku bugenyi obw'ennaku 5, twagguddewo Ttabamiruka wa Buganda Bumu mu Buwalabu, tusobodde okulambula ebifo eby'enjawulo n'okusisinkana abakulembeze ab'enkizo mu Nsi eyo era tusuubira ebibala bingi Byonna byatambudde bulungi, kyokka twasanze embeera ya bannaffe naddala abaana abawala abayisibwa mu mbeera ennyigiriza obulamu bwabwe omuli n'abakozesebwa obwamalaaya! Ebikolwa bino tubivumirira era nsabye Omubaka wa Kabaka mu Nsi eyo okulondoola embeera eno n'abakulembeze abalala abavunanyizibwa wabeewo ekikolebwa okukomya ebikolwa nga bino. Ffenna tusaana okubeera mu Nsi eno nga tugyeyagaliramu awatali kunyigirizibwa.
4
7
27
1,789
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Enkya ya leero, abantu ba Kabaka bakiise Embuga mu nkola ya #LuwaloLwaffe Ssaza Mawokota; Ssaabaddu Kituntu, Ssaabawaali Nkozi ne Mut. II Kirengente Ssaza Busiro; Ssaabawaali Kasanje ne Ssaabagabo Nsangi Buddu; Ssaabawaali Bukoto Kyaddondo; Mut. IV Mukulu wa Kibuga Mengo Lubaga Essaza Rocky Mountains USA Owek. @KazibweIsrael y'akiikiridde Katikkiro mu kutikkula oluwalo leero
1
14
71
3,957
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Ntongozza ttabamiruka wa Buganda Bumu mu Buwalabu asookedde ddala ku Sheraton Creek Hotel mu Dubai. Tukubiriza abantu baffe abali mu Buwalabu okukoppayo ebintu eby'enkizo ebiyambye abaayo okwekulaakulanya nabo babisse mu nkola kibayambe okugenda mu maaso. Tubakubiriza n'okugoberera amateeka ag'eyo gye bali baleme kusiiga kifaananyi kibi ku ggwanga lyabwe ekiyinza okufiiriza abalala omukisa okugenda okukolerayo. Nneebaza bonna abakoze enteekateeka ennungi okulaba nti ttabamiruka ono atambula bulungi. #BBAAC2025
4
19
119
4,371
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Katikkiro Charles Peter Mayiga leero atikkula oluwalo okuva mu masaza; Buweekula, Kyaggwe, Butambala, Buddu ne Kyaggwe. Amasaza gano gakiikiriddwa eggombolola Mumyuka Bagezza, Musaale Nagojje, Ssaabaddu Ngando, Ssaabawaali Bulo, Mut. VIII Kasaali wamu n'ekitongole ky'abakyala okuva mu ssaza Kyaggwe. #LuwaloLwaffe2025 #BugandaKuNtikko
1
5
1
58
1,822
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Katikkiro @cpmayiga ayolekedde ggwanga lya America okwetaba mu lukuŋŋaana lwa Buganda Bumu North American Convention #BBNAC2025 Katikkiro ayogeddeko eri Bannamawulire n'ategeeza nti ekibatwala ekikulu kukumaakuma bantu ba Kabaka abali ebweru wa Buganda. gambuuze.ug/katikkiro-agenze…
2
9
50
1,562
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Kulika Kulika Ayi Mpologoma ya Buganda okutuuka ku lunaku luno olw'ekkula ery'emyaka 70. Katonda Yeebale🙏 Yuguuma Yuguuma Ayi Ssaabasajja Kabaka! #KabakaMutebiAt70
39
309
17
1,105
27,035
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Nsisinkanye Abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna ab'e Ssaza Kooki, n'embalambika ku ntambuza y’emirimu.Ku mukolo gwe gumu olukiiko olukulembeze olw'e Ssaza wamu n'omumyuka owokubiri ow'omukwanaganya w'emirimu gya Ssaabasajja mu Ssaza Kooki,bakubye ebirayiro eby'obuweereza mu bifo
1
2
35
759
Olukiiko lw'ekitongole ky'obuwangwa n'obulambuzi mu Kyaddondo lutongozeddwa. Omumyuka Owookubiri owa Kaggo Dr. Fiona Kalinda ng'atongoza olukiiko luno asabye abaweereddwa obuvunaanyizibwa abakulirwa Dr. Zaitun Baboolamwavu, okutuukiriza obulungi ebibasuubirwamu.
2
7
196
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Abantu ba Kabaka Balabuddwa ku kwonoona obutondebwensi. Minisita Israel Kazibwe Kitooke yakoze okulabula kuno bw'abadde atikkula oluwalo okuva mu Bannakyaggwe, Bannabulemeezi ne Bannabuddu abakiise Embuga olwaleero. #LuwaloLwaffe2025 Ebisingawo 👇 gambuuze.ug/abantu-ba-kabaka…
1
1
14
864
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Tulina ensonga eziwerako okwenyumiriza n'okujaganya olw'emyaka 70 egya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II. #KabakaMutebiAt70 | #KabakaWange
11
70
470
8,308
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Entebya y'Oluwalo 2024 egenda kwanjulwa enkya ya leero #Luwalo2024
1
13
1
138
3,903
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Emiramwa 12 mu bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obwa Ssekukkulu Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'asinziira mu Lutikko e Lubaga akubirizza Obuganda okwefumiitiriza ku bubaka buno n'okuteekateeka mu nkola Maasomoogi bye yayogeddeko. Ebisingawo 👇 #Gambuuze gambuuze.ug/okusaba-kwa-seku…
8
43
1,985
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Oluwummula Lutuuse, Abaana Mubakuume Butiribiri - Minisita Serwanga Minisita w'Abavubuka, Emizannyo n'Ebitone Owek. Robert Serwanga Ssaalongo y'atikudde oluwalo leero okuva mu Bannabulemeezi, Bannassingo ne Bannabuddu abakiise Embuga n'ensimbi ezisobye mu bukadde 46. Owek. Serwanga asinzidde wano n'akubiriza abazadde okufaayo ennyo okukuuma abaana baabwe era babayigirize okukola emirimu egy'awaka n'egyo egivaamu ssente, okusinga okutaayaaya ku byalo n'okumalira ebiseera ku TV n'emitimbagano. Minisita wa Gavumenti ez'ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki asinzidde wano ne yebaza abantu ba Kabaka olw'okujjumbira okuwaayo oluwalo, era abakubiriza okwongera okubeera Obumu ng'abantu ba Kabaka bakolere wamu mu mbeera zonna olwo Buganda ejja kwongera okusituka. #Luwalo2024
1
3
21
1,127
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Ekiriwo kati; Ggombolola ez’enjawulo okuva mi Masasa Ssingo, Busiro, Buddu, zikiise embuga okuleeta oluwalo. Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, yakiikiridde Katikkiro okubatikkula nga ayambibwako Oweek. Joseph Kawuki.
2
6
49
1,179
Ministry of Local Government_Buganda retweeted
Abantu ba Kabaka okuva mu ggombolola Mut. IV Masekkati, Ssaabagabo Lufuka, ne Ssaabawaali Gombe mu Kyaddondo wamu ne Mut. III Kyampisi mu Kyaggwe bazze Embuga okuleeta oluwalo lwabwe. Owek. Hajj. Amisi Kakomo, Minisita w'Obulimi, Obweggasi, Obusuubuzi n'Obuvubi ku lwa Katikkiro y'agenda okubatikkula oluwalo luno. Minisita Noah Kiyimba y'akiikiridde Minisita wa Gavumenti ez'Ebitundu. Omumyuka Asooka owa Kaggo Omw. Bakulumpagi Ronald wamu n'Omumyuka Owookubiri owa Ssekiboobo Omw. Katende Fred be bakulembeddemu abakiise Embuga. #Luwalo2024 #BugandaKuNtikko
6
16
112
2,449